Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Isaaya 31

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama .
2Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi; tajjulula bigambo bye. Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu, ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
3Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri. Katonda bw’agolola omukono gwe oyo ayamba, alyesittala, n’oyo ayambibwa aligwa era bombi balizikiririra wamu.
4Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti, “Ng’empologoma bwe wuluguma, empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba kiyitibwa awamu okugirumba, tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, newaakubadde oluyoogaano lwabwe. Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta, okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu, bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi; alikikuuma, n’akiwonya, alikiyitamu n’akirokola.”
6Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
7Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu; ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo. Alidduka ekitala, n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
9Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya, n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,” bw’ayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.