Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 9

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.”
2Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.
3Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu,
4n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”
5Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa.
6Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.
7N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna.
8Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”
9N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘ Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’
10Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”
11Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.