Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Eseza 5

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene.
2Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.
3Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”
4Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”
5Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.”
6Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”
7Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino.
8Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”
9Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi.
10Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka. Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye,
11era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be.
12“Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka.
13Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.”
14Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.