Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Eseza 10

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kabaka Akaswero n’asalira abantu bonna ab’obwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu n’abo abaabeeranga ku bizinga.
2Era ebikolwa bye byonna eby’obuyinza n’amaanyi ge, n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi.
3Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.