Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 8

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ani afaanana omuntu omugezi amanyi okunnyonnyola buli kintu? Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu, ne gakyusa emitaafu gyamu.
2Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira mu maaso ga Katonda.
3Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala.
4Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”
5Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi, omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
6Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu, newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.
7Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo, kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
8Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo; bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe. Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo, bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.
9Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka.
10Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.
11Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi.
12Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.
13Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.
14Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu.
15Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
16Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro.
17Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.