Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 6

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu.
2Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.
4Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.
5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
6omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7Buli muntu ateganira mumwa gwe, naye tasobola kukkuta by’alina.
8Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru? Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala, agasibwa ki?
9Amaaso kye galaba kisinga olufulube lw’ebirowoozo. Era na kino nakyo butaliimu, na kugoberera mpewo.
10Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda, n’omuntu kyali kyamanyibwa, tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi, n’amusobola.
11Ebigambo gye bikoma obungi, gye bikoma n’obutabaamu makulu; kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.