Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 34

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani,
2ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba,
3ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali.
4Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”
5Awo Musa, omuweereza wa Mukama , n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali.
6Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero.
7Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko.
8Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.
9Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
10Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso.
11Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna,
12era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.