Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 13

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo,
2era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako),
3towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna.
4Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
5Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.
6Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako,
7bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma,
8tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga.
9Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo.
10Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu.
11Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.
12Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu,
13nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako,
14kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo,
15kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna.
16Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa.
17Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,
18kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.