Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

2 Basessaloniika 2

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kaakano abooluganda, ku by’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’okukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba
2muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olw’omwoyo, newaakubadde olw’ekigambo wadde olw’ebbaluwa, ebirabika ng’ebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse.
3Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ng’obujeemu busoose okujja, n’omuntu oli ow’obujeemu, omwana w’okuzikirira ng’amaze okulabisibwa,
4oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.
5Temujjukira ng’ebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe?
6Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ng’ekiseera kye kituuse.
7Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo.
8Olwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe.
9Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna n’akola obubonero n’eby’amagero, eby’obulimba,
10era n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa.
11Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okw’amaanyi bakkirize eby’obulimba.
12Era bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.
13Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima,
14ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
15Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.
16Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye,
17abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.