Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 1

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira,
2nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
3Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.
4Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza.
5Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa.
6Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.
7Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.
8Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu.
9Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala,
10n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,
11ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
12Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe.
13Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza.
14Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.
15Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.
16Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.
17Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
18Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira,
19ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe.
20Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.