Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Basessaloniika 1

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nze Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.
2Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa,
3nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe,
4era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda.
5Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe.
6Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu,
7ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya.
8Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera.
9Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima,
10era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.