Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Yokaana 1

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe.
2Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli.
3Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.
4Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
5Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.
6Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima.
7Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.
8Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe.
9Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
10Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.