Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 8

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba.
2Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya.
3Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.
4Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala.
5Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi.
6Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
7Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka.
8Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.
9Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza.
10Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala.
11Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo!
12Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo.
13Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.