Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 13

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala.
2Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu.
3Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.
4Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza.
5Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.
6Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima.
7Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.
8Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma.
9Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu.
10Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo.
11Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito.
12Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.
13Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.