Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 14

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
2Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
3Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala.
4Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
5ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti,
6ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
7ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.
8Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala.
9Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu;
10Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
11Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
12Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
13Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu.
14Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama , Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
15Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
16Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.